Numbers 20:14-21

Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo

14 aMusa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,

“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi.
15 bOmanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 cnaye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.

17 d“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”

18Naye Edomu n’addamu nti,

“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”

19 eAbaana ba Isirayiri ne baddamu nti,

“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”

20Naye Edomu n’addamu nti,

“Temuyitawo.”

Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi.
21 fBw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.

Copyright information for LugEEEE